Ssabalamuzi Owinyi Dollo atuuse ku Bulange asobole okwetondera Kabaka mu butongole

By Kizito Moses Buule

SSABALAMUZI we Ggwanga Owinyi Dollo kyadaaki alinnye ekigere kye ku kitebe ekikulu eky’obwaKabaka bwa Buganda okusobola okwetondera Ssabasajja Kabaka mu butongole saako n’oBuganda okutwalira wamu.

Kino kidiridde Dollo okubaako ebigambo ebikaawu bye yayogerera Kabaka saako n’abaganda bwe yali agenze mu maka g’omugenzi Jacob Oulanya abadde  Sipiika w’olukiiko olukulu olwe Ggwanga eyafiira mu Ggwanga lya America gye buvuddeko.

Olunaku lw’okubiri Dollo era yawandiise ekiwandiiko  ekyetondera Kabaka wa Buganda saako n’abaganda, kyokka ne kitamumalira kwe kugenda asisinkane abakulu e Mengo asobole okulaga obuwulize eri Ssabasajja Kabaka saako n’obuganda okutwalira awamu.

Ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, abakungu ba Kabaka abalala saako ne bannadiini abakulembeddwa Ssabalabirizi wa Uganda Steven Kaziimba Mugalu, era mu kiseera kino akafubo kagenda mu maaso.

Ebigambo ebyamuleetera akabasa n’abaganda okutuuka okumutabukira mwalimu okuyita abaganda abantu abatalina Nsa era nagattako nti baasanyukira okufa kwa Oulanya Obwakabaka kye bugamba nti tekyali kituufu.

Dollo era yategeeza nga Kabaka bwali omusosoze mu mawanga, era nagattako nti abantu abekalakasiza wabweru we ddwaliro e Seattle baali Baganda

Ono era yawayiriza Ssabasajja nti yatambulira mu nnyonyi ye Ggwanga bwe yali agenda okujjanjabwa emitala wa mayanja, songa musajja wattu yatambulira mu nnyonyi eyabulijjo eya Kkampuni ya KLM.

Kisuubirwa nti Dollo wanaviira mu Bulange ensonga zonna zijja kuba ziwedde

 

The post Ssabalamuzi Owinyi Dollo atuuse ku Bulange asobole okwetondera Kabaka mu butongole appeared first on Watchdog Uganda.

Source: Ssabalamuzi Owinyi Dollo atuuse ku Bulange asobole okwetondera Kabaka mu butongole

Category: Luganda, News, Politics, Bulange, Charles Peter Mayiga, Owinyi Dollo