Omusumba Lwandasa; Mukomye ebikolwa eby’okuyiwa omusaayi, musonyiwagane

By Kizito Moses Buule

OMUSUMBA  we kkanisa ya Mt Lebanon Christian Center Church -Mukono Samuel Lwandasa avuddeyo n’asaba banna Uganda n’abakkiriza ba kristo okukozesa amazuukira okw’ekuba mu mutima nga bewala ebikolwa ebye kko saako n’okusonyiwagana.

Bino byabadde mu bubaka bwe obwa mazuukira mu kusaba ku kkanisa  esangimbwa ku kyalo Ggunga okw’etambiddwamu n’amungi w’abakkiriza,

Lwandasa yategezezza nti ebikolwa by’okuyiwa omusaayi n’okutwalira amateeka mu ngalo ennaku zino bifuuse baana baliwo nga bisanye okukomezebwa.

Yanyonyodde nti singa omuntu abeera afunye obutakanya ne munne kibeera kirungi okumusonyiwa mu kifo ky’okumuggya mu bulamu bwensi nti kuba kino ssi kye kisebaayo, bwatyo era n’akkatiriza nti mu bikujjuko bino ebya’mazuukira abantu  basanye okwewala okuyiwa omusaayi saako n’okutamirukuka kye yagambye nti tekiweesa mukama kitiibwa

 

The post Omusumba Lwandasa; Mukomye ebikolwa eby’okuyiwa omusaayi, musonyiwagane appeared first on Watchdog Uganda.

Source: Omusumba Lwandasa; Mukomye ebikolwa eby’okuyiwa omusaayi, musonyiwagane

Category: Luganda, religion